Okuwandiisa bakansala ku mutendera gwa disitulikiti mu Kampala kutambudde bulungi.
Bangi bamaze okuwandiisibwa era nga batandika kampeyini ssabbiiti ejja.
Twogeddeko nabamu ku bawandiisiddwa okuli Allen Kisige, Saul Kulya ne Henry Lukwaya neboogera ku biki byebauubira okukolera abantu.
Atwala eby’okulonda mu Kampala Charles Ntege agamba nti tebasanze buzibu n’akatono.
Ate okuddako e Makindye saabagabo e Wakiso, abantu abasoba 50 beebawandiisiddwa.
Ku bano kuliko abagaala obwa meeya ne bakansala ku mitendera egitali gimu.
Atwala eby’okulonda e Wakiso Sarah Bukirwa agambye nti obuzibu bwokka bwebasanze bwebannakibiina kya NRM ababiri abagenze okuwandiisibwa nga bakayaanira bendera.
Bukirwa asabye abawandiisiddwa okugoberera amateeka g’ebyokulonda agabaweereddwa
E Mpigi, okusinziira Ku akulira akakiiko K’ebyokulonda , Flavia Mujulizi, basunsudde abagenda okubeera bassentebe ba district.
Abadde akulira akakiiko akagaba emirimu ku disitulikiti eno Mathias Mugenyi yoomu ku bawandiisiddwa nga kati asigadde yeeyaliko omubaka wa Mawokota mu bukiikakkono Peter Clever Mutuluuza owa NRM, Munna DP Male Fred Mukasa ne gweyawangula mu kamyufu Vicky Kawooya.