
Gavumenti ya sabasajja Kabaka emalirizza enteekateeka y’okuwaaba ekitongole ky’enguudo ekya UNRA lwakuzimba nguudo ku ttaka lya mutanda nga tesasudde.
Akulira ekitongole ky’ettaka ekya Buganda ekya David Kiwalabye Male, agamba nti UNRA ebanjibwa obuwumbi obusukka mu 10 olw’ettaka lya kabaka kw’eyisa enguudo.
Kiwalabye anokoddeyo enguudo ng’olwa Northern By-pass, Mukono- Nyenga n’olwa Kampala Entebbe- Express high way kko n’endala .
Kiwalabye bino abyogeredde mu kakiiko akanonyereza ku mivuyo mu kitongole ky’enguudo ekya Uganda National Roads authority.