
Katikiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga yenyamidde olw’abantu abataliiko kyebakola kweyimirizaawo nebadda mu kuzannya zzaala n’okusiba emipiira nga kino kikuumidde abantu ba ssabassajja bangi mu bwaavu.
Katikiro okwogera bino abadde mu Ssaza lye Ssingo mu gombolola ye Myanzi mu disitulikiti ye Mubende ku mulimu gw’aliko ogw’okukunganya Ettofaali okuzza Buganda ku ntiko.
Mu ngeri yeemu Kamalabyonna akubirizza abalimi obutagwaamu maanyi olw’ebbula ly’obutale eririwo ensangi zino mu ggwanga wabula bongere amanyi mu by’obulimi nga batunda ebyo byebalima kibasobozese okufunamu akasente akababeezawo baleme okwekubagiza.