
Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti beekubidde enduulu eri akakiiko akakola ku gavumenti ez’ebitundu nga bawakanya okutondebwaawo kw’amasaza 39 amapya.
Akulembeddemu aba gavumenti ‘ekisikirize era nga yye ssabawandiisi wa FDC Nandala Mafaabi agambye nti okutondawo amasaza gano kirimu ebyobufuzi era nga mugugu eri omuwi w’omusolo.
Mafaabi agambye nti abantu bangi abagaala amasaza gano batunuulidde okulonda kwa 2016 eky’obulabe eri eggwanga