Skip to content Skip to footer

Mukulu alabiseeko mu kkooti

File Photo: Mukulu ngali ku npingu
File Photo: Mukulu ngali ku npingu

Akulira abayekeera ba ADF Sheikh Jamil Mukulu olwaleero alabiseeko mu kkooti

Jamil Mukulu eyakomezebwaawo ku butaka ku ntandikwa y’omwezi guno atwaliddwa mu kkooti enkya ya leero ng’abadde wamu n’omumyuka we Mohammad Matovu n’eyali akola ku by’ensimbi Umar Abdallah Muteka.

Abasatu bano okutuuka ku kkooti bajjidde mu motoka kika kya saluuni eya tinti ng’ewerekerwa emotoka za poliisi ttano n’abapoliisi 30 abali mu kiwayi ekikola ku butujju.

Tewali akkiriziddwa mu kkooti okubadde abantu ba bulijjo ne bannamawulire.

Jamil Mukulu n’abalala 22 okuli ne Dr Aggrey Kiyingi bavunaanibwa misango gya butujju

Tekinnategerekeka bano bakomawo ddi mu kkooti .

Leave a comment

0.0/5