Skip to content Skip to footer

Eyasobya ku kateyamba asindikiddwa mu Kkomera

Bya Ruth Anderah

Agavudde mu kooti, omuvubuka owemyaka 20 akaligiddwa nasindikibwa e Luzira, lwa kwegadanga na mwana owemyaka 15 eyalina obulemu ku bwongo.

Reagan Kibuuka yalabiseeko mu maaso gomulamuzi we ddaala erisooka ku City Hall Patrick Talisuna, kyoka namugaana okubaako kyayogera kubanga  omusango gwe gwa nagomola ogulina okuwlirwa mu kooti enkulu.

Obujulizi obuleeteddwa bulaga nti ono omusango yaguzza nga,  November 23rd  2017 e Kyebando Kisalosalo.

omuvunanwa atwaliddwa ku alimanda e Luzira okutuusa nga January 23rd 2018.

Leave a comment

0.0/5