Skip to content Skip to footer

Okubuliira abaana akabi kokw’egadanga kikulu nnyo

Bya Tom Angurin

Alipoota empya, eyafulumizddwa abekitongole kya Straight talk foundation Uganda eraze nti, abaana abatera okuwuliriza ku mboozi zomukisenge okuva ku bazadde baabwe bekuuma, okukira abo ababiwulira mu mikwano gyabwe kubanga babawabya.

Mu alipoota yaabwe balaze nti kikulu nnyo abaana okubatuuza, okubabulirira nokubalabula ku kabi akali mu kwegadanga nga tebanetuuka, kuba bandibuuka nendwadde nga mukenenya.

Omukwanaganya wemirmu mu kitongole kino Hassan Sekajoolo kati alaze obukulu bokukumiranga abaana mu kumanya.

Assubizza nti kati bakukwatagana ne ministry yebyenjigiriza nemizannyo okuvaayo nentekateeka, okuyamba nabaana abali mu masomero.

Leave a comment

0.0/5