Skip to content Skip to footer

Omubbi bamutidde ku ssomero

Bya Sadat Mbogo

Police mu district ey’e Mpigi etandise okunonyereza ku kuttibwa kw’omuvubuka asangiddwa ngamenya ebisulo by’abasomesa ku ssomero lya St. Theresa P/S e Mitala-Maria.

Omuvubuka ono atannamanyika bimukwatako abadde atemre amu myaka 23 ng’okuttibwa asangiddwa abasomesa b’essomero lino ng’awalampa ekimu ku kisenge kya munnaabwe nebatandika okumukuba, okutuusa lwasizza ogwenkomerero.

Akulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango ku police e Buwama, John Nabende ategeezezza nga police bwetandise opkunonyereza okuzuula abenganda z’omugenzi.

Omulambo gutwaliddwa mu gwanika ly’eddwaliro e Gombe okuterekebwa n’okwekebejjebwa.

 

Leave a comment

0.0/5