By Samuel Ssebuliba.
Ebibiina by’obwanakyewa biriko alipoota gy’ebifulumizza nga eno erambika ebyaliwo ku office zaabwe ezizze zimenyebwa okuviira dala mu mwaka 2011 okutuuka kaakano.
Bwabadde afulumya eby’azuuliddwa mu kunonyereza kuno, eyakuliddemu okunonyereza kuno Anthony Masape agambye nti ebitongole 24 byebyalumbibwa mu banga kino , nga kuno kwekuli ekya HURINET, HRNJ, LASPNET, AKINA MAMA WA AFRIKA n’ebirara .
Mukunonyeereza kuno kizuse nga waliwo office ezaalina obunafu mu by’obukuumu, nga ezimu tezaalina bikomera, CCTV camera, abakuumi nga kwogasse n’enkomera
Wabula kizuuse nga enkwe ezokulumba ebifi bino zaalimu abantu abomunda gamba nga abakozi benyini oluuusi nabakuumi
Wabula ye akulira eby’edembe ly’obuntu mu Police James Kusemereirwe agambye nti n’ebitongole bino byakolamu ensonbi bwebitaateka bukuumi bwetagisa ku offIce zaabyo.