Bya Ndaye Moses.
Tutegeezeddwa nga eby’entambula y’okumazzi bwebigenda okulongooka , nga kino kidiridde okukakasibwa nga bwewaliwo ebidyeri bya government ebigenda okuletebwa mu gwanga.
Twogedeko naakola ku by’entambula ey’okunguudo mu kitongole ekya Uganda National Roads Authority Reuben Byaruhanga naagamba nti omwaka ogujja government ereete ebidyeri bitaano okuli ekigenda okutambuza abasabaze okutuuka ku kizinga kye Sigulu,Amuru Rhino camp, Bukungu ,Kagwaira kko n’ekirara kitekebwe ku nyanja Bunyonyi.
Ono agambye nti mukaseera kano balina ebidyeri 10 byokka, kale nga kaweefube wakulaba nga biwera 15 mu bwangu dala.