Bya Ben Jumbe.
Ekibiina ekya FDC kiriko enkyukakyuka zekikoze mu bukulemebeze bwakyo, okukakana nga waliwo abakungu abagiddwa ku lukiiko olukulu oluguga ekibiina olwa NEC.
Abakyusiddwa kuliko eyamubaka Alice Alaso nga ono asikiziddwa Taaka Kevina nga ono kati yaamyuka presient mu buvanjuba bwe gwanga.
Omubaka William Nzoghu kati yamyuka president mu bugwanjuba bwe gwanga- asikidde Patrick Baguma.
Hon Hasan Kaps Fungalo asikidde Kasiano wadri nga amyuka omukunzi wa FDC mu mambuka,’
Yye omubaka wa Kawempe North MP Munyagwa Mubarack kati yazze mukifo kya Alex Gitta nga amyuka omukunzi wa FDC mu masekati ga Kampala, songa John Kikonyogo kati yaamyuka ayogerera FDC , nga ono azze mukifo kya Paul Mwiru.