Entiisa ebutikidde abatuuze be Mateete mu disitulikiti ye Sembabule oluvanyuma lw’abaana 3 okujiira mu nyumba nomulala nebamugyamu nga ayidde ebitagambika.
Abaana bano babadde ba Joseph Ssenyondo nga bategerekese nga Wycliffe Kizza myaka 10, Batesta Ssenyondo 5, ne Betty Nandawula owemyaka 8, sso nga apooceza mu ddwaliro ye Wilfred Ssenyondo owemyaka 8.
Kigambiba omuliro guno guvudde ku kasubbawa akalekeddwa nga kaaka olwo nekagwa ku katimba k’ensiri omuliro wegutandikidde.
Okusinziira ku taata w’abaana bano, maama waabwe abadde afulumye bweru kuyamba ku mbizzi yaabwe okuzaala.
Ayoferera poliisi mu kitundu Noah Sserunjogi akaksizza enjega eno nategeeza nti webatukidde mu kiffo kino baabu we nga kikerezi abatto nga bafuuse muyonga.