Eyesimbyewo ku lulwe Amama Mbabazi ayimirizza enkungaana ze zonna okusobola okukungubagira omugenzi Suzan Namaganda.
Mbabazi abadde alina okukuba enkungaana e Isingiro, Ruhama ne Kanungu.
Mu kiwandiiko ky’afulumizza , Mbabazi ategezezza nga bw’agenda okudda mu kampeyini ku lunaku lwokuna.
Mungeri yeemu Besigye ayolekedde Kyegegwa oluvanyuma lw’okutalaaga Mubende olunaku lw’eggulo.