Gavumenti esabiddwa okulwanyisa obuli bw’enguizi mu poliisi y’okunguudo okusobola okulwanyisa obubenje ku nguudo.
Nga akulembeddemu emmisa y’okusabira omwoyo gw’abadde omubaka omukyala owe Bukomansimbi Susan Namaganda ku lutikko e Lubaga, Msgr Charles Kasibante ategezezza nga obuli bw’enguzi bwebuviriddeko obubenje okweyongera ku nguudo.
Ategeezezza nga abagoba b’ebidduka abatalina bisanyizo n’abavuga emmotoka zi ganyegenya bwebeyibaala olw’ekyojja mumiro kyebawa abaserikale ababayimiriza olwo nebavulumula mmotoka ezivaako obubenje.
Omugenzi amumenye nga omuntu abadde ow’e ddembe.
Omulambo gw’omugenzi gusuubirwa okutwalibwa ku palamenti ku ssaawa 6 ez’emisana ababaka bajjukire ebirungi by’akoledde eggwanga.