Waliwo abakwata mmundu abatandise okuwandagaza emizinga ku nkambi z’amaggye ezitali zimu mu ggwanga lya Burundi.
Omwogezi w’amaggye mu ggwanga lino ategeezezza ku bano 12 babadde battiddwa ate abasoba mu 20 nebakwatibwa
Abantu bategeezezza nti bawulidde emizinga nga givuga okumala essaawa nga n’amasasi gesooza
Buno bwebulumbaganyi obwakasinga okuba obwa maanyi okukolebwa bukyanga gavumenti y’omukulembeze aliko Pierre Nkurunziza okugezaako okuvuunikibwa
Ab’ekibiina ky’amawanga amagatte bagamba nti aba Gavumenti n’abavuganya bonna kati bakunga abantu baabwe okwetaba mu ntalo ezesigamye ku mawanga