Uganda yakugenda mu maaso okutabaganya gavumenti ya Burundi n’abagivuganya oluvanyuma lw’obulumbaganyi obwakoleddwa ku nkambi y’amaggye omwafiiridde abantu abasoba mu 80.
Omukago gwa East Africa gwawa Uganda obuvunananyizibwa buno okuva mu mwezi ogwokutaano omwaka guno nga era minisita w’ebyokwerinda y’azze atuuza enjuuyi zombi.
Kati minisita omubeezi akola ku nsonga z’amawanga g’ebweru Okello Oryem agamba bakugenda mu maaso n’enteseganya okumalawo okulwanagana okwatandika mu mwezi ogwokuna.
Okuva omwezi ogwo abantu ab’enjawulo bazze bekalakaasa nga bawakanya ekikolwa kya pulezidenti Nkurunzizza okuddamu okwesimbawo ku kisanja ekirala mweyawangulira akalulu.