Skip to content Skip to footer

Akabenje katuze mukaaga

Abantu mukaaga beebafiiridde mu kabenje ka baasi akagudde mu kibuga kye Rwahi ku luguudo oluva e Kabale okudda e Mbarara.

Baasi namba UAM 804V eremereddwa okusiba  n’eyingirira ki tuleera

Atwala poliisi ye Rwizi Patrick Mungasa agambye nti abalumiziddwa batwaliddwa ku ddwaliro lye Kabale kyokka ng’abafudde bonna ebibakwatako tebinnaba kutegerekeka.

Akabenje kano akatadde ku kuvugisa ekimama.

Akulira eddwaliro lye Kabale Dr Alex Andema agambye nti abantu 20 beebaweereddwa ebitanda nga ku bano kkumi bali bubi ddala.

Dr Andema agambye nti omuntu omu y’akutuse nga yakatuusibwa ku ddwaliro.

Leave a comment

0.0/5