Bya Ritah Kemigisa.
Police wano mu Kampala ekutte akulira Hotel empya emanyiddwa nga Mestil esangibwa wano e Nsambya, nga ono yetagibwa anyonyole engeri omwana ow’emyaka 13 gyeyafiiridde mu kidiba ekizungu – swimming pool ekiri mu hotel eno.
Twogedeko n’ayogerera police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigyire naagamba nti manager atwalidwa ku police ye Kabalagala nga n’okunonyereza bwekutandika.
Oweyesigyire agamba nti olunaku lweggulo baafunye esimu okuva eri muzadde w’omwana ono, kyoka tebaasobodde kutaasa mwana ono .
Mukaseera kano omulambo gw’omwana gutwaliddwa mu gwanika e mulago.