Skip to content Skip to footer

Edagala ly’abalwadde b’emitima lyakukka ebeeyi.

Bya Ndaye Moses.

Oluvanyuma lw’abantu abalina ekirwadde ky’omutima okukaabanga olwebeeyi  y’edagala eyitiridde, kati aba Uganda heart institute batadde omukono ku ndagano ne company eya  Sanddoz pharmaceuticals , nga eno yakusobozesa abalwadde okufuna edagala ku beeyi ey’awansi.

Twogedeko n’amyuka akulira edwaliro lino Dr. Peter Lwabi  naagamba nti endwadde ezijja n’obulwadde bw’omutima nyingi, kale nga waliwo esuubi nti  edagala lino lyakumalawo emitawaan gyonna

Ono agamba nti abantu abalina ebirwadde nga sukaali, omugejjo kko n’ebirara bakozesa ensimbi ezitakka wansi wa 100,000 okugula amakerenda buli mwezi, wabula nga muntekateeka eno bakukozesa nga ensimbi ezitasukka 30,000 buli mwezi.

Ono agambye nti edagala lino lyebakaanyizaako lyakusangibwanga mu malwaliro ga government mwokka.

Leave a comment

0.0/5