Skip to content Skip to footer

Palamenti ekomawo mu luwummula olwaleero

Bya Benjamin Jumbe ne Samuel Ssebuliba

Ababaka ba palamenti amabwerako bali mu kutya olwebikolwa ebyokutulugunya abantu ebyenyongedde.

Bino webijidde nga palamenti ekomawo mu luwummula, ababaka gyebababdde bamaze, kyenkana omwezi mulamba.

Waliwo ekibinja kyababak abaali balaliise nga bwebagenda okukunganya emikono, okusaba palamenti eyitibwe okuva mu luwummula okuteesa ku kitulugunya bantu ekiriwo.

Kati omubaka we Buyaga Bernabas Tinkasimire agambye nti olwaleero nga bazeezo okutuula, basubira gavumenti yandivuddeyo ne alipoota ku bantu abazze batulugunyizibwa na butya bwebagenda okumalalwo omuzze guno.

Mu kiwandiiko ekyafulumizibwa omumyuka wa kalaani wa palamenti Paul Wabwire wiiki ewedde, ababak bategezebwa nti olwaleero palamenti yakuddamu okutuula.

Ate abamu ku babaka okulwa kwekibiina kya NRM mu buyinza bakitadde ku, njawukana ku ludda oluvuganya gavumenti.

Bino webijidde ngababaka ne banabyabufuzi abakiriza mu kisinde kya people power, bagamba nti bagala kugatta ebibiina byobufuzi byonna ngekyokuddamu eri ebizibu bya Uganda mu byobufuzi.

Twogeddeko nababaka okuli owa Kawempe south, Mubrack Munyagwa, owa Lubaga south Paul Kato Lubwama, owa munispaali ye Masaka Mathias Mpuuga nabalala.

Leave a comment

0.0/5