Bya Magembe Sabiiti ne Ivan Ssenabulya
Abayizi 3 mu kibiina kyomusanvu ku somero lya Kakenzi P/S mu gombolola ye Madudu e Mubende tebalabiseko kukola bigezo byabwe.
Headmaster we somero lino Kyambadde Charles ategezezza nga bwebawandiisa abaana 85 okukola ebigezo wabula basatu tebazze.
Agambye nti kyavudde ku nkayana za ttaka eziri mu kitundu.
Ate omuyizi Faridah Nabakooza, ali mu maziga, bwebakamutemye nti tagenda kukola bigezo kuba teyawandisibwa.
omwana ono abadde asomero ku Dulhudah Islamic Education Center wabula yaddukidde ku poliisi ne kitaawe Mohamad Kakooza nga bagala bayambibwe.
Omuzadde agamba nti yasasula ensimbi ezetagisa mu budde, naye teyategedde lwaki omwana we teyakoze bigezo byakamalirizo.
Yye omukulu we’ssomero aterekeseeko erya Kasolo agambye nti abaddenga ayita taata womwana ono bateese kuba yasasula ebisale byokwewandiisa kikerezi, nayenga tajja.