Bya Ruth Anderah
Munabyafuzi Moses Bigirwa okuva mu kibiina kya DP asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira oluvanyuma lwokulabikako mu kooti ya Law Development Center ku misango gyokusasanya amwulire agobulimba.
Kigambibwa nti Bigirwa yatatana gavumenti nga bweyategeeza nti erina olukwe okutemula omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Sentamu amanyiddwa nga Bobi Wine.
Bigirwa kinajjukirwa nti yakwatibwa nga December 29th 2018 bweyali ava ku rwadio emu e Bwaise.
Okusinziira ku ludda oluwaabi ebigambo bya Bigirwa byali bikuma omuliro mu bantu.
Wabula ono emisango agyegaanye mu maaso gomulamuzi wa LDC owe daala erisooka Roseline Nsenge.
Kati aziddwayo ku alimanda e Luzira okutukira ddala nga January 9th lwanasaba okweyimirirwa.