Bya Abubaker Kirunda
Poliisi mu district ye Mayuge ebakanye nomuyiggo ku musajja owemyaka 57 agambibwa nti yabadde nomukono ku kufa kwa muwala we owemyaka 14.
Ahmed Wesonga nga mutuuze ku kyalo Busamu mu gombolola ye Malongo yeyetagibwa poliisi nga kigwambibwa nti yakubye muwala we Winnie Nabwire okutuusa lweyasizza ogwenkomerero.
Akulira okunonyereza ku buzzi bwemisango e Mayuge Hassan Chelengeti akaksizza nti ono bamwetaaga, ayamebko mu kunonyereza.