Bya Ruth Anderah
Kooti yamagye nate egobye okusaba kwomuyima wa Boda-Boda 2010 Abdullah Kitatta, okwokweyimirirwa.
Kooti etulako ngekubirizibwa Lt. Gen Andrew Gutti abalamuzi 7 awatali kwesalamu balamudde nti bwebanamuyimbula yanditataganya okunonyereza.
Omulamuzi Guti agambye nti era teyalaze bukakafu nti mu nkambi yamagye e Makindye tafunirayo bujanjabi, nga bwalajana nti ali ku mugo gwa ntaana kuba mulwadde, waddenga abadde aleese abamweyimirira abalina ebisanyizo.
Lt. Gen Andrew Gutti agambye ntti omusango gwe munene, gwebatayinza gamala gamuyimbula.
Kitatta yakwatibwa nga January 20th 2018 ngavunanibwa kusangibwa na byakulwanyisa mu bumenyi bwamateeka.
Kati aziddwayo ku alimanda e Makindye okutukira ddala nga 13th November omusango gwe lwegunatandika okuwulirwa.
Wabula aba family ya Kitatta bavuddewo nga banyiivu ebitagambika, era nebawera obutaddamu kulinnya kigere ku kooti.