Skip to content Skip to footer

Gavumenti esabiddwa kunsimbi z’abayizi

Bya Prossy Kisakye, Eyaliko kyansala wa Makerere University Prof. George Mondo Kagonyera asabye gavumenti enkyuse ensimbi z’ebadde ewa abayizi abagezi eziwe abo abatasobola kufuna nsimbi za university kubanga abayizi abayitibwa abagezi mu masomero amalungi abafuna sikaala zino basomesebwa kuyita bigezo mungeri yonna omuli n’okubibba.

Ono agamba nti abayizi bano yadde gavumenti ebateekako essira emirundi mingi tebayitira ku magezi gaabwe kyokka abasomera mu masomero agatali malungi ne balemwa okuweeza obubonero okufuna sikaala za gavumenti baba bakozeseza bwongo bwabwe okufuna obubonero bwebaba bafunye.

Kagonyera ayogedeko nti gavumenti esanye efeeyo nyo kungeri y’okufunamu amagezi kuba ky’ekikulembera eggwanga erinakula.

Leave a comment

0.0/5