Waliwo obwetaavu okwengera okwebuuza ku nsonga zenteseganya wakati wa gavumenti ya Burundi saako nabajivuganya.
Kino kidiridde okulemererwa okutuuka ku kukaanya ku nteseganya ezabadde zirina okuddamu okuttojjera ku ntandikwa ya wiiki eno mu Arusha ekya Tanzania.
Kati bwabadde ayogera ne banamawulire wano mu Kampala minister webyokwerinda Dr. Cryspus Kiyonga agamby balina okutya olwokulwanaganya okugaanye okukya waddenga bagezaako okutabaganya enjuuyi zombi.
Kiyonga agambye nga president Museveni bweyawabula waliwo obwetaavu buli omu okwetaba mu nteseganya zino nabavuganya nga waddenga yo gavumenti ya Burundi ekiwakanaya.
Kati agamba gavumenti ya Nkurunziza esaanye okwekuba mu mutima ku kino.