Skip to content Skip to footer

Mbabazi alimba- Poliisi

Poliisi evuddeyo nesambajja ebyayogeddwa omu ku besimbyewo kubwa pulezidenti Amama Mbabazi  nti abaserikale batuntuza abamunonyeza akalulu.

Mbabazi y’ategezezza nga abawagizi be enfunda eziwera bwebagaliddwa awatali musango nga n’abamu batiddwa.

Kati omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga agamba Mbabazi by’ayogerako naddala akavuyo akaali e Ntungamo katandikibwa bawagizi be.

Agamba abakubi b’emiggo abakwatibwa bawerebwa akakiiko k’ebyokulonda kale nga poliisi y’ali ekola gwayo.

Ono alabudde Mbabazi okwewala okumala gogera ebitaliiko matu namagulu.

Leave a comment

0.0/5