Poliisi ye Mbale eriko basajja baayo 2 bekutte wamu n’okuwummuza 13 lwakwebulankanya ku mirimu.
Ku bakwatiddwa kuliko n’akulira poliisi ye Nakaloke Collin Ahasibwe.
Kino kiddiridde abatemu okugezaako okulumba amaka ga Sheikh Asadi Mujansi nga ono muganda wa seeka Rashid Wafula nebagezaako okumukuba amasasi.
Aduumira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga Haruna Isabirye ategezezza nga abo abakwatiddwa n’okuwummuzibwa emirimu bwegibalemye.
Ababiri abakwatiddwa baali baweebwa Sheikh Mujansi okumukuuma oluvanyuma lw’okutibwa kwa mugandawe.