Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago akkirizza okwetonda kwa ssenkaggale w’ekibiina kya DP Norbert Mao.
Olunaku olw’eggulo Mao yetondedde Lukwago olw’ebisongovu bweyamuwerekereza oluvanyuma lwa Lukwago okusimbira ttabamiruka w’ekibiina ekkuuli.
Wabula Lukwago agamba okwetonda kwa Mao kulina okuwerekerezebwako ebikolwa mu kuzza obumu mu kibiina.
Agamba Mao kati essira alina kuliteeka ku kugonjoola ensonga ezayanjibwa akakiiko akatekebwawo okutabaganya ekibiina aka Olum.
Mungeri yeemu loodi meeya ategezezza nga enteekateeka z’ekisinde kyabwe ekya Platform for Truth and Justice kyakugenda mu maaso n’enkungaana zaakyo e Mityana nga era bakusaba mu butongole okwetaba mu lusirika lw’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa Democratic Alliance .