Skip to content Skip to footer

Amaggye gambudde Mbabazi abakuumi wakati mu by’okwerinda kasiggu

Bannamaggye ewa Mbabaiz

Amaggye ne poliisi wetwogerera nga beebulunguludde amaka g’abadde ssabaminisita John Patrick Amama Mbabazi.

Emotoka za poliisi bbiri zisimbye ebweru ate nga munda namwo mulimu bannamaggye ne poliisi.

Amaka agoogerwaako gasangibwa ku luguudo olumanyiddwa nga Kal e Kololo.

Amaggye gakulembeddwaamu Brig Leo Kyanda nga bano tukitegedde nti bagezaako kujjako Mbabazi bakuumi bannamaggye okuzzaawo aba poliisi

Okusinziira ku muwala wa Mbabazi, Nina Mbabazi, abajaasi bano batuuse ku ssaawa mwenda kitundu era nebatandika okukola ogwaabwe

Bino byonna okubaawo nga Mbabazi ne mukyala we tebaliiwo

Omwogezi w’amaggye g’eggwanga Lt Col Paddy Ankunda akakasizza nga bwebagenze okujjayo amaggye gaabwe poliisi eddeyo

Bino bizze nga Mbabazi tannaweza na wiiki ng’agobeddwa ku bwa ssabaminista

Leave a comment

0.0/5