Bya Ndhaye Moses
Ebitongole byobwanakyewa ebirwanirira eddembe lyobuntu bittukizza okubanja gavumenti, nti ekole entekateeka okumalawo omujjuzo mu makomera.
Kino bagamba nti kisoboka okuyita mu kugaba ebibonerezo ebisamusaamu, nga bulungibwansi ri abakola emisango emitonotono.
Ebibalo okuva mu kitongole kyamakomera, biraga nti mu Uganda mulimu abasibe emitwalo 6 mu 5,000 nga wabaddewo okweyongea okuva ku mitwalo 5 mu 9,000 mu bbanga eryomwaka gumu.
Ku basibe bano, 1,400 bebalwadde ba ssenyiga omukambwe eranga abantu 3 mu kitongole kyamakomera bebafudde nga kuliko nomusirikale.
Kati Doreen Kyazze, akulira ekitongole kya Penal Reform International mu Africa agambye nti okuzimba amakomera amalala ssi kyekyokuddamu eri omujjuzo naye okulwanyisa obumenyi bwmaateeka nokugaba ebibonererzo ebisamusaamu kyekyokuddamu.
Doreen Kyazze okwogera bino yabadde aliko enkata gyawaayo eri ekitongole kyamakomera, okubayambako mu kulwanyisa obulwadde nokubutangira.