Bya Ruth Anderah.
Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni adukidde mu kakiiko akakola ku by’etaka, nga awawaabira abasajja okuli John Byamukama, Kongo ne Katende Seggane baagamba nti baagenda mu famuye esangibwa wano e Katwekambwa e Gomba nebamubbako etakalye.
Etaka ely’ogerwako lisangibwa mu famu ye Kisozi.
Ono nga ayita mu maneja wa famu eno Florence Kamatenesi, President agamba nti etaka eriweza yiika 300 ebyapa byazo byabibwa.
Ono agamba nti etala lino yaligula ku mugenzi Bitali ne walugembe, kyoka agenza okwezimukiriza nga yiika 300 abakulu bano bebalina ebyapa byalyo.
Kati president ayagala akakiiko kayingire mu nsonga zino.