Skip to content Skip to footer

Nabbanja asabye abantu basiime ssente gavumenti zegenda okubawa

Bya Ritah Kemigisa

Ssabaminisita we’gwanga Robinah Nabbanja asabye banna- Uganda okusiima ekitono gvumenti kyegenda okubawa okubayambako mu muggalo.

Entekateeka egenda mu maaso okuwa amaka gaba mufuna mpola, emitwalo 10 abaalinga bakola mmere ya leero.

Kati bwabadde ayogerako naffe amakya ga leero, Nabbanja agambye nti gavumenti yakoze kisoboka okufuna ssente okuwa abantu wakati mu kusomosebwa okuli mu byenfuna byegwanga.

Ekitongole kyebibalo mu gwanga kyesamudde entekateeka zokuwaayo ebibali kuba mufuna mpola abagenda okuyambibwako gavumenti.

Wabula Nabbanja agambye nti bagenda kukozesa ebibalo byebakozesa mu kugaba emmere mu muggalo ogwaliwo omwaka oguwedde.

Leave a comment

0.0/5