Bya Sadat Mbogo
Abatuuze ku kyalo Buleregye mu gombolola y’e Muduuma mu district ey’e Mpigi baliko abaana 2 bebanunudde, abaasuuliddwa mu kibira.
Okusinziira ku kansala wekitundu kino Ronald Kanyike, abaana kuliko ow’emyezi ebiri n’owomwaka ogumu n’ekitundu nga basangiddwa bakaaba enjala.
Kitegeerekese ngabaana bano ba mukyala ategeerekese erya Jovia gwebalumiriza okubeera omutamiivu.
Ayogerera police mu bitundu by’a Katonga Phillip Mukasa agambye omukyala ono amaze okukwatibwa ngokunonyererza kugenda mu maaso.