Bya Damalie Mukhaye
Abaana abobuwala mu myaka ejivubuka, naddala mu migotteko bebsinze okukabasanyizibwa, nga kitereddwa ku bunafu bwa gavumenti ebalagajjalidde.
Bwabadde ayogerera mu kutambula, okubadde mu Kirombe ne Kisaansizi mu bitundu bye Kabalagala, akulira ekitongole kya Forum for girls International Esther Namboko agambye nti abaana beeno embeera gyebawnagaliramu mbi ddala.
Okutambula kuno kubadde kugendereddwamu, okumanyisa abantu ku kabi akali mu bikolwa byokutulugunya abaana nabakyala, ngemu ku ntekateeka yokukuza ennaku 16 ezokulwanyisa obutabanguko
Anokoddeyo em,beera yabaana okuba nti betoloddwa amabaala, enzikiza, bulikonda bwanguyidde nnyo ba ssedduvutto okusobya ku baana bano.
Akati akubidde gavumenti omulanga okulongoosa embeera zabantu abawangaliira mu bitundu bino.