Skip to content Skip to footer

Emirambo gituuse- bannyini gyo batabuse

Bakulu coach in accident

Wabaluseewo akavuyo ku ddwaliro ekkulu e Mulago oluvanyuma lw’emirambo gy’abafiira mu ggwanga lya South Sudan okukomezebwaawo.

Kino kiddiridde abe Mulago okwagaala okusooka okwekebejja emirambo , abafiirwa kyebagaanye nga bagamba nti gano malya nsimbi.

Bano bagamba nti abantu bano batwalibwa mu ddwaliro e Juba kale nga tewali nsonga lwaki babekeneenya

Emirambo nno egituuse gibadde 9 yadde nga ku lukalala oluzze n’emirambo, amannya ga bantu 25 geegazze n’emirambo

Kikakasiddwa nti emirambo gino bakugikwasa banyini gyo olunaku lw’enkya nga gimaze okukolebwaako

Leave a comment

0.0/5