Bya Shamim Nateebwa
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 asiimye okulabikako eri Obuganda okuggalawo empaka zomupiira gwebika bya Baganda.
Omupiira ogugulawo gugenda kubeera wakati wenkima ne Mpindi.
Okusinziira ku minister webyemizanyo nokwewumuzamu mu bwakabaka bwa Buganda Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, emikolo jigenda kukwatibwa Kibibi e Butambala.
Mungeri yeemu ono ajjukizza abantu ba kabaka bateeke essira ku kuweerera abaana n’okukola obutaweera okugoba obwavu.
Minista asabye abasajja era okufaayo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka.