Bannayuganda abakebera amanya gaabwe ku nkalala z’abalonzi bakyali batono .
Okutimba enkalala zino kwakugendera ddala okutuusa nga 11 August ku bifo ebyenjawulo ewalonderwa.
Bakalabalaba 4000 bebawandisiddwa akakiiko k’ebyokulonda okutwala enteekateaka eno mu maaso.
Omusasi waffe Moses Ndaye ategezezza nga bw’atuuseko mu bifo ebyenjawulo nga abantu abekebera ku nkalala zino bakyali bamuswaba.