Skip to content Skip to footer

Gavumenti esabiddwa okanonyereze ku kibba ttaka

File Photo: Minista we bye ttaka Nantaba
File Photo: Minista we bye ttaka Nantaba

Gavumenti esabiddwa okuteekawo akakiiko ak’enjawulo kanonyereze ku kibba ttaka mu bitundu bya Albertine ewasimwa amafuta.

Omulanga guno gukubiddwa ab’ekibiina ekirwanyisa obuli bw’enguzi ekya Transparency International.
Okusinziira ku alipoota guekifulumizza olwaleero, abagagga bagenda mu maaso n’okwezza ettaka mu kitundu kino olwo nebafubutula bebasangako.

Akulira emirimu mu kibiina kino Kathleen Drophy ategezezza nga abantu bomu kitundu kino bwebetaga amateeka amakakali okubakuuma okuva eri abanyazi b’ettaka.

Bano era baagala palamenti eveeyo n’amateeka aganayamba ababa bagobeddwa ku ttaka mungeri y’obumenyi bw’amateeka.
Bano era basabye ab’ebibiina by’obwanakyewa ebirala okukwatiza ku kkooti ababiddwako ettaka okufuna obwenkanya.

Leave a comment

0.0/5