Aba KCCA bamenye ebizimbe ebisoba mu 30 wali e Mbuya. Bino kuliko amayumba g’abapangisa, amaduuka ne garage okusinga eby’omusuubuzi Hajj Muhamad.Damulira. KCCA egamba nti bano bazimba mu kkubo nga era bazze babalabula okwamuka ekifo kino naye nga tebawulira Abantu abasinga kati bibasobodde era bali mu kusomba bintu byabwe nga tebanamanya wa wakulaga. Omu ku bakyala gwebamenyedde enyumba katono yesuule mu mmotoka nga agamba takyalina nsonga lwaki abeera ku nsi.
Wabula akulira abakwasisa amateeka mu KCCA Kituuma Rusoke ategezezza nga bwebalabudde abantu bano enfunda eziwera baamuke ekifo kino naye nga balinga abafuyira engida omulele. Yo poliisi eyiiriddwa mu kifo kyonna okukuuma obutebenkevu