Omuwendo gw’abantu abakafiira mu muyaga gw’e Buliisa gulinye okutuuka ku bantu 6.
Omuyigo gw’abalala gukyagenda mu maaso nga era poliisi ye Kampala kati y’eyambako ey’eBuliisa okulaba nga bazuula abalala.
Aduumira poliisi ye Buliisa John Rugira ategezezza nga bwebazudde omulambo gwa Alex Baguma okuva ku mwalo gwe Butiaba sso nga emirambo 3 bagizudde ku mwalo gw’e walukuba.
Kati omwogezi wa disitulikiti ye Buliisa Hanington Tibaijuka agamba abaakoseddwa betaaga obuyambi kubanga kati abasinga ku baakoseddwa kati bewogomye mu baliraanwa namikwano.