Skip to content Skip to footer

Abalwanyisa enguzi bawagidde okugoba abakozi

File Photo: cissy Kagaba
File Photo: cissy Kagaba

Ab’ekibiina ekirwanyisa obuli bw’enguzi  mu ggwanga ekya  Anti-Corruption Coalition in Uganda kitenderezza nyo akulira ekitongole ky’ebyenguudo mu ggwanga Allen Kagina olwokuyiwa abakozi bonna okutereezza empeereza y’emirimu.

Olunaku lweggulo abakozi abasoba mu 800 bagobeddwa nga kigendereddwamu kulwanyisa buli bwanguzi mu kitongole.

Akulira ekibiina kino Cissy Kagaba  ategezezza nti kyaddaaki gavumenti yawulidde omulanga gwabwe okulwanyisa obulyake mu bitongole bya gavumenti kale nga n’abalala basaanye okulabira ku mukyala Kagina.

Leave a comment

0.0/5