Skip to content Skip to footer

Bataano bafudde ebitategerekeka

File Photo: Abasawo abatendekedwa
File Photo: Abasawo abatendekedwa

Minisitule y’ebyobulamu esindise ekibinja ky’abasawo mu disitulikiti ye Buliisa okunonyereza ku kirwadde ekitanategerekeka ekyakatta abantu kati bataano.

Abasawo bagamba nti abagenzi baabadde n’omusujja ogwamanyi nga basesema musaayi wamu n’okuddukana omusaayi .

Akulira eddwaliro lye Buliisa  Hannington Tibaijuka ategezezza nga abakwatiddwa ekirwadde kino bwebagiddwako omusaayi nga era gwakwekebejebwa mu ddwaliro lya gavumenti erinonyereza ku ndwadde Entebbe.

Wabula Tibaijuka asambazze ebigambibwa nti yandiba Ebola.

Bbo abatuuze mu kitundu kino beralikirivu wabula ab’ebyobulamu babasabye okubeera abakkakamu.

Leave a comment

0.0/5