File Photo: Abasawo abatendekedwa
Minisitule y’ebyobulamu esindise ekibinja ky’abasawo mu disitulikiti ye Buliisa okunonyereza ku kirwadde ekitanategerekeka ekyakatta abantu kati bataano.
Abasawo bagamba nti abagenzi baabadde n’omusujja ogwamanyi nga basesema musaayi wamu n’okuddukana omusaayi .
Akulira eddwaliro lye Buliisa Hannington Tibaijuka ategezezza nga abakwatiddwa ekirwadde kino bwebagiddwako omusaayi nga era gwakwekebejebwa mu ddwaliro lya gavumenti erinonyereza ku ndwadde…
