Bya Benjamin Jumbe
Minister owa guno na guli Alhajji Abdul Nadduli atabukidde munne, minister owa kampala Betty Kamya akola ku nsonga za Kampala, nga agamba nti ono eby’okugaziya Kampala agwana ebyesonyiwe tajja kubisobola.
Ono waviirideyo nga Betty Kamya yakaladde nagamba nti kampala ayagala agaziwe okutuukira ddala e Mpigi, Mukono, ne Wakiso, ekyatabudde abantu.
Kati bwabadde ayogerako ne banamawulire, minister Nadduli agambye nti okukyusa mu nsalo za kampala, nsonga ya ssemateeka, nga Kamya tagwana kuva buvi eri alowooze nti ageda kugaziya kampala nga tamaze na kwebuuza.
Ono agamba nti okusokera ddala Kamya alina okusooke yeebuze ku bakulu banne okuli Buganda, ministry eya governmet ezebitundu, olukiiko lw’abaminister nababaka ba palament benyini.