Skip to content Skip to footer

E gomba omusamizze attidwa mu bukambwe.

Bya Mbogo Sadat.

Abatuuze ku kyalo Nsambwe mu ggombolola y’e Kyegonza mu district ey’e Gomba baguddemu entiisa bwebasanze omulambo gw’omusawo w’ekinnansi nga yattiddwa mu ntiisa.

Ssessaazi John, 43, yattiddwa mu kiro ekikeesezza olwaleero era omulambo negusuulibwa ku duuka ly’omusuubuzi e Nsambwe ategeerekese nga ye Kirumira James. 

Omugenzi abadde abeera ku kyalo kirala ekiyitibwa Kizigo kyokka ate baamutidde Nsambwe era nga police weetuukidde, esanze omulambo gugangalamye mu kitaba ky’omusaayi.

Aduumira police y’e Gomba, Robert Kuzara ategeezezza nti omusamize ono yandibanga abadde n’obutakkanya mu bantu abamu naddala nga ensonga zeekuusa ku ku baloga.

Mu kiseera kino omulambo gutwaliddwa mu ggwanika e Gombe.

Leave a comment

0.0/5