Skip to content Skip to footer

Abantu musanvu bafiiridde mu kabenje e wakaliga.

Wakaliga accident

Abantu musanvu bafiiridde mu kabanje akagudde e Wakaliga ku ssekabaka road.

Okusinziira ku aduumira poliisi y’ebidduka ku poliisi ye Lungujja Dominic okello, ekimotoka kya loole ekibadde kyetisse emmwanyi , kiremeredde omugoba waakyo ,nekiyingirira Taxi ebadde eyolekera Kampala .

Abantu 5 bbo bafiriddewo, songa 2 bafiiridde mu dwaliro emulago.

Ayogerera eddwaliro lye Mulago Enock Kusaasira atutegeezeza nti abakyali mu mbeera embi nabo bali musanvu,nga kuno kuliko abasajja 5 n’abakyala 2.

 

 

 

Leave a comment

0.0/5