Bya Malik Fahad
Poliisi ye Busia eriko omusajja ow’emyaka 40 gwekutte lwakusobya ku muwalawe ow’emyaka 12 gyokka.
Amawano gano gabadde ku kyalo Kyekya mu gombolola ye Suguda mu disitulikiti ye Sembabule.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi Sowali Kamulya ategezezza nga musajja mukulu ono bwekakatise ku muwala ono mujjananyina nga maamawe agenze mu tawuni ye Mbale okubaako nebyagula.
Maama olukomywewo akawala nekamuloopera nga taata bwakatunuzza mu mbuga ya sitaani naye tasibyemu atuukidde ku poliisi naloopa omusango guno.
Mukiseera kino namunswa ono akuumibwa ku poliisi ye Busia nga era wakugulwako gwa kujjula bitanajja.