Bya Magembe Ssabiiti.
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Namukoze mu central division mu kibuga Mityana abantu 2 bwebafiridde mu muliro ogukute enyumba mwebabadde basula.
Abafudde kuliko Namukadde Nakabugo Annet ow’emyaka 55 ne muzukulu we Kabanda Nicolas ow’emyaka 3 atenga Kalule Gideon owemyaka 4 asobodde okusimatuka omuliro guno.
Omwogezi wa police mu Wamala Region Nobert Ochom ategezezza ng’omuliro guno bweguvudde ku kasubaawa akalekedwako kayaka.