Bya Samuel Ssebuliba.
Waliwo abantu babiri abatokomokedde mu kabenje akagudde ku kyalo Kakatunda ku luguudo olugatta Kabale ku Mbarara .
Kano akabenje okugwawo kidiridde taxi number o UBB 883V okugwa neyeefuula emirundi egiwerako
Ayogerera police yeeno Elli Matte agambye nti abafudde kuliko Manikuze Charles ow’emyaka 38 ne Bagaruye Lawrence oweyaka 60.
Ono agamba nti okunonyereza okusooka kulaga nti kano akabenje kavudde kulufu olungi olubadde mu kitundu kino, songa n’oluguudo lubi nyo.